Ezra 2

Olukalala olw’Abawaŋŋangusibwa Abaddayo

1 aBano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 2 bAbaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya
Nekkemiya ono, si ye oli eyawandiika ekitabo kya Nekkemiya.
, ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.

Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:
3 dbazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),
4bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372),
5bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano (775),
6bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812),
7bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
8bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano (945),
9bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga (760),
10bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri (642),
11bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu (623),
12bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222),
13 ebazzukulu ba Adonikamu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),
14bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga (2,056),
15bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana (454),
16bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana (98),
17bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323),
18bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri (112),
19bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
20bazzukulu ba Gibbali kyenda mu bataano (95).
21 fAbazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123),
22abazzukulu ab’e Netofa amakumi ataano mu mukaaga (56),
23abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128),
24abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri (42),
25abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743),
26 gabazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),
27abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),
28 habazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),
29abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri (52),
30abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga (156),
31abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),
32abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320),
33abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano (725),
34 iabazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345),
35n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630).

36 jBano be bakabona:
bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu (973),
37 kbazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),
38 lbazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247),
39 mbazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017).

40 nNe bano be Baleevi:
bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana (74).

41 oBano be bayimbi:
bazzukulu ba Asafu
Asafu y’omu ku Baleevi, Dawudi be yalonda okuvunaanyizibwanga eby’okuyimba
kikumi mu amakumi abiri mu munaana (128).

42 qBano be baakuumanga
Abaakuumanga baali Baleevi abaavunaanyizibwanga okukuuma omulyango gwa Yeekaalu.
enzigi za yeekaalu:
bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).

43 sAbaaweerezanga mu yeekaalu be bano:
bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
44bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,
45bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,
46bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,
47bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,
48bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,
49bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,
50bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
51bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
52bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
53bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
54bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
55Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali:
bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,
56bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
57bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Ami.
58 tOmuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).

59 uNe bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.
60Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri (652).

61 vNe ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,
ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya eryo.
62 wAte waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu. 63 xOmukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.

64Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360), 65 yokwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi
Okugatta ku bayimbi Abaleevi, waabangawo n’abayimbi abalala abaayimbanga mu mbaga ez’enjawulo ne mu nnyimbe
abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200).
66 aaBaalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245), 67n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).

68 abAwo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda. 69Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.

70 acAwo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.

Copyright information for LugEEEE